May 12, 2014 22:41
Ekibiina kyaffe kirimu abantu ab’amawanga ag’enjawulo era aboogera ennimi ez’enjawulo, kyokka tulina bingi ebitugatta. Ekisinga okutugatta kwe kuba nti ffenna twagala okugulumiza Yakuwa, Katonda ow’amazima era Omutonzi w’ebintu byonna. Tufuba nnyo okukoppa Yesu Kristo era twenyumiriza nnyo okubeera Abakristaayo. Buli omu ku ffe awaayo ebiseera okuyamba abantu okuyiga ebikwata ku Bayibuli ne ku Bwakabaka bwa Katonda. Olw’okuba twogera ku Yakuwa Katonda n’Obwakabaka bwe, tuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
луганда